- The Word
EkigamboKu lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda....Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. John1:1, 14 Naye n'addamu n'agamba nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda. Matayo Matthew 4:4 Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.- Zabbuli Psalms 119:11 Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. - Yokaana John15:3 Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. - Zabbuli Psalms 119:130 Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima. - 2 Timoseewo 2 Timothy 2:15 Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima. - Abaebbulaniya Hebrews 4:12 Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. - Yokaana John 6:63 Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala. - Matayo Matthew 24:35 ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu - 1 Peetero 1 Peter 2:2 |